Friday, July 29, 2016

KANYIMBE lyrics by Juliana Kanyomozi

Verse 1

Amazima ddala nkimanyi nti Mukama omanyi
Bwentunula gyewanzigya, abalala gyewabaleka
Ondwanila entalo abalabe zebaleeta
Kale nebwebayimuka, nga Mukama wooli sitya
Si nsonga, wadde nga silina maanyi
Kuba Mukama atuula mu nze, oli wamanyi ssebo
Si nsonga, wadde nga silina ssente
Kuba gwe Katonda gwensiinza ensi yiyo eno

Chorus
Kanyimbe, nyimuse elinya lyo Yesu
Mukama, wotoli nze nandibadde ntya?
Ne bino byona Mukama ebinuma
Bitwaale, abalabe bange banzigyeko olukongoolo

Verse 2
Bwentunula amazima ndaba nti awatali gwe Mukama
Ye nze nandibadde ntya? Enaku nandigizize wa?
Nekweeka mu gwe, olwaazi olwaase
Mukama mazima oli mwesigwa gw’omanyi ebyange
Saasira obunafu bwange, amaziga ago genkukaabira
Kuba mu maaso go kitange ndi mwaana ssebo
Saasira ebyoonoono byange Mukama bwenkusobya
tohila busungu, tova ku ludda lwange

(Chorus)

Verse 3
Nyamba, nsobole okusonyiwa nange abansobya
Yadde byebankola, bimenya omutima
Abali eyo abateesa engeri gyebansuula
Mukama maanyi obalaba bakyankalanye
Nyamba, nsobole okukozesa ekitone kyompadde
Ela nsaba onyambe onzigyemu amalala
Nsaba okozese obulamu bwange
Nga nkyalina amanyi, onkozese ebinene

(Chorus) 

No comments:

Post a Comment