Friday, July 29, 2016

OLIBERA NANGE lyrics by Juliana Kanyomozi

[Verse 1]

Mpulila nkwagala

Nkwagala kuva kutoobo y’omutima

Ela mwatu…

Guno omukwano gw’empulila joli gwa namaddala

Ng’amazzi…

Bwegakulukuta ekilo ne gatatya bibbe

Nomusayi gwange bwegukulukuta nga ndyawo mumikono gyo

Ngenkuba…

Bwetonge ebilime nebi jaguzza

Bambi no nakino kisubizze

Nti tolindeka musana gwe Juba

(Chorus)

Olibera nange, ensi ne bwenakyuka

Olibera nange, nekusawa esemba yo

Olibera nange, ngo mungongo tekukyakyuka

Olibera nange, nekusawa esemba yo

[Verse 2]

Lwakuba ate ekyo tekisoboka

Nandi kwambadde nge kyomubulago

Oba ekiwato, oba omukono, okumpi wekulabila

Ng’amalusu bwegesomba kusawa ey’okulya

Ng’omwana bwakabila ebeele 

Ohh ng’enkonko bwewambatila obwana bwezadde 

Ngeffudu bwekuma omutwe

Ela nange nsubiza

(Chorus)

[Verse 3]

Ondaze kano akassela

Ketubadde nawe

Nti omukwano gwo kirabo gyendi nze

Twagalane ng’emikono

Buli gumu gwe gunnaza guna gwo

Nkunkutte mungongo wendi mwatu

Tukadiwe ngandi nawe

Nga nemyaka jetimbye mukyenyi

Nsiggale nga nze baby

Nga nze baby

(Chorus X2

No comments:

Post a Comment